1 Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
2 Ndyogerera mu ngero,
3 ebintu bye twawulira ne tumanya;
4 Tetuubikisenga baana baabwe,
5 Yawa Yakobo ebiragiro,
6 ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
7 balyoke beesigenga Katonda,
8 Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
9 Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
10 tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
11 Beerabira ebyo bye yakola,
12 Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
13 Ennyanja yajaawulamu,
14 Emisana yabakulemberanga n’ekire,
15 Yayasa enjazi mu ddungu,
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
17 Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
18 Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
19 Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
20 Weewaawo yakuba olwazi,
21 Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
22 Kubanga tebakkiriza Katonda,
23 Naye era n’alagira eggulu;
24 N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
26 N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
29 Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
30 Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
31 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
32 Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
33 Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
34 Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
35 Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
36 Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
37 so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
38 Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
39 Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
40 Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
41 Ne baddamu ne bakema Katonda,
42 Tebajjukira buyinza bwe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
44 yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
45 Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
46 Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
47 Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
48 Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
49 Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
50 Yabalaga obusungu bwe,
51 Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
52 N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
53 N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
54 N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
55 Yagobamu amawanga nga balaba,
56 Naye era ne bakema Katonda;
57 Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
58 Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
59 Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 N’ava mu weema ey’omu Siiro,
61 N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
63 Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
64 Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.
65 Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
66 N’akuba abalabe be ne badduka;
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
68 naye n’alonda ekika kya Yuda,
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
70 Yalonda Dawudi omuweereza we;
71 Ave mu kuliisa endiga,
72 N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,