1 Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
2 Naye bwe nasirika
3 Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
4 “Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
5 Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
6 Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
7 Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
8 Ondokole mu bibi byange byonna,
9 Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
10 Olekere awo okunkuba,
11 Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
12 Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
13 Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,