1 Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
2 Golokoka okwate engabo,
3 Galula effumu,
4 Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
5 Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
6 Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.
7 Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
8 bazikirizibwe nga tebategedde,
9 Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
10 Amagumba gange galyogera nti,
11 Abajulizi abakambwe bagolokoka
12 Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
13 So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
14 ne mbeera mu nnaku
15 Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
16 Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
17 Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
18 Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
19 Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
20 Teboogera bya mirembe,
21 Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
22 Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
23 Golokoka ojje onnyambe;
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
25 Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
26 Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
27 Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
28 Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,