1 Nnina obubaka mu mutima gwange
2 Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
3 Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
4 Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
5 Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
6 Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
7 Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
8 Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
9 Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
12 Laba, ababi nga bwe bagudde!