1 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
2 Mumuyimbire, mumutendereze;
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
4 Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
5 Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
6 mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
7 Ye Mukama Katonda waffe;
8 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
9 ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
10 Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
11 “Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
12 Bwe baali bakyali batono,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
14 Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
15 “Abalonde bange,
16 Yaleeta enjala mu nsi,
17 N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
18 ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
19 okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
20 Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
22 okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
23 Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
24 Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
25 n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
26 Yatuma abaweereza be Musa
27 Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
28 Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
30 Ensi yaabwe yajjula ebikere,
31 Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
32 Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
33 Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
34 Yalagira, enzige ne zijja
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
36 N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
37 Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
38 Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
39 Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
40 Baamusaba, n’abaweereza enkwale
41 Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
42 Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
43 Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
44 Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
45 balyoke bakwatenga amateeka ge,