1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
2 Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo
3 n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi;
4 Afuula empewo ababaka be,
5 Yassaawo ensi ku misingi gyayo;
6 Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
7 Bwe wagaboggolera ne gadduka;
8 gaakulukutira ku nsozi ennene,
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
10 Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu;
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko;
12 Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi,
13 Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera;
14 Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,
15 Ne wayini okusanyusa omutima gwe,
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi;
17 Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo;
18 Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera;
19 Wakola omwezi okutegeeza ebiro;
20 Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
21 Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya;
22 Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma
23 Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,
24 Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
25 Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
26 Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
27 Ebyo byonna bitunuulira ggwe
28 Bw’ogibiwa,
29 Bw’okweka amaaso go
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
31 Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
32 Atunuulira ensi, n’ekankana;
33 Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
34 Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
35 Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;