1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
3 Asonyiwa ebibi byo byonna,
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
5 Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
7 Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
8 Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
9 Taasibenga busungu ku mwoyo,
10 Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli,
11 Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi,
12 Ebibi byaffe abituggyako
13 Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
14 Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa
15 Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo;
16 empewo ekifuuwa, ne kifa;
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
18 Be bo abakuuma endagaano ye
19 Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu,
20 Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be,
21 Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu,
22 Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna