Provérbios 8

LUG

1 Amagezi tegakoowoolera waggulu,

2 Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,

3 ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,

4 Mmwe abantu, mmwe b’empita;

5 Mmwe abatategeera mufune okutegeera;

6 Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,

7 Akamwa kange koogera bituufu byereere;

8 Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya

9 Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,

10 Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,

11 kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,

12 Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,

13 Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;

14 Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;

15 Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,

16 Abalangira bafuga ku bwange,

17 Njagala abo abanjagala,

18 Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,

19 Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,

20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,

21 n’abo abanjagala mbagaggawaza

22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka

23 Nateekebwawo dda nnyo,

24 Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,

25 ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,

26 nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,

27 Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,

28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,

29 bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,

30 Nnali naye ng’omukozi omukugu,

31 nga nsanyukira mu nsi ye yonna,

32 Kale nno, batabani bange mumpulirize;

33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,

34 Alina omukisa omuntu ampuliriza,

35 Kubanga buli andaba afuna obulamu,

36 Oyo atannoonya yeerumya yekka,

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado