1 Teweegombanga bakozi ba bibi
2 Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu,
3 Amagezi ge gazimba ennyumba,
4 Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi,
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza,
6 Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa,
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru,
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi,
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona,
10 Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu,
11 Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa,
12 Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,”
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi,
14 Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu,
16 Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka,
17 Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde,
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa,
19 Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi,
20 Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso,
21 Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka,
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu
23 Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi.
24 Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,”
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu,
26 Eky’okuddamu eky’amazima,
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru,
28 Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo,
29 Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze,
30 Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
33 Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
34 obwavu bulikutuukako ng’omutemu,