1 Erinnya eddungi lyagalibwa okusinga eby’obugagga ebingi,
2 Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
3 Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
4 Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
5 Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
6 Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
7 Omugagga afuga abaavu,
8 Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
9 Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
10 Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
11 Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
13 Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
14 Malaaya mutego gwa kabi,
15 Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
17 Ossangayo omwoyo okuwuliriza ebigambo by’omugezi,
18 Kibeera kya ssanyu bw’obikwata ku mutima gwo,
19 Mbikumanyisa leero ggwe,
20 Kale sikuwandiikidde ebintu amakumi asatu ebikuwabula
21 Sikulaze ekirungi n’ekituufu,
22 Tonyaganga mwavu, kubanga mwavu,
23 Kubanga Mukama alibawolereza,
24 Tokwananga muntu wa busungu,
25 oleme okuyiga amakubo ge
26 Teweegattanga ku abo abeeyama,
27 Bw’oliba nga tolina kya kusasula
28 Tojjululanga nsalo
29 Omanyi omuntu omunyiikivu era omukugu mu mulimu gwe?