1 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
2 era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
4 bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
5 awo w’olitegeerera okutya Mukama,
6 Kubanga Mukama awa amagezi;
7 Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
8 Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
10 Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
11 Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
13 abaleka amakubo ag’obutuukirivu
14 abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
15 abantu abo be b’amakubo amakyamu,
16 Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
17 eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
18 Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
19 Tewali n’omu agenda ewuwe adda
20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
21 Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
22 Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,