Provérbios 1

LUG

1 Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.

2 Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,

3 Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,

4 okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,

5 N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga

6 Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,

7 Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

8 Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

9 bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

10 Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,

11 Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,

12 ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,

13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,

14 ng’ababi batuyita tubeegatteko,

15 Mwana wange totambuliranga wamu nabo,

16 Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,

17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego,

18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka,

19 Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.

20 Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;

21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,

22 Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,

23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange,

24 Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,

25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,

26 kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,

27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,

28 kale balinkoowoola, naye siriyitaba;

29 Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,

30 Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;

31 Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,

32 Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono

33 naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado