1 Engero za Sulemaani:
2 Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
3 Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
4 Emikono emigayaavu gyavuwaza,
5 Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
6 Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
7 Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
8 Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
9 Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
10 Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
11 Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
12 Obukyayi buleeta enjawukana,
13 Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
14 Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
15 Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
16 Empeera y’omutuukirivu bulamu,
17 Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
19 Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
21 Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
22 Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
23 Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,
24 Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
25 Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
26 Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
27 Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
28 Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
29 Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
30 Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
31 Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
32 Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;