Jeremias 3

LUG

1 “Omusajja bw’agoba mukazi we,

2 Yimusa amaaso go olabe ku ntikko y’obusozi.

3 Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,

4 Tewakaŋŋamba nti Kitange ggwe mukwano gwange

5 onoonyiigira ddala emirembe gyonna,

6 Mu nnaku z’obufuzi bwa kabaka Yosiya Mukama yayogera nange n’aŋŋamba nti, “Olabye Isirayiri etali neesigwa ky’ekoze? Agenze ku buli kasozi na buli wansi w’omuti oguyimiridde ne yeeyisa ng’omukazi omwenzi.

7 Nalowooza nti, Bw’alimala okukola bino byonna agenda kudda gye ndi naye teyadda, era muganda we atali mwesigwa Yuda n’akiraba.

8 Yalaba nti bwe namala okugoba Isirayiri eyanvaako, ne muwa n’ebbaluwa ey’okumugoba olw’obwenzi bwe. Naye ate ne ndaba muganda we atali mwesigwa Yuda nga taliimu kutya, naye n’agenda n’akola obwenzi.

9 Awo obwenzi bwe bwatuuka ne bumwanguyira nnyo n’ayenda n’asinza amayinja n’ebikonge.

10 Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.

11 Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa.

12 Genda obuulire abantu b’omu bukiikakkono obubaka buno, obagambe nti,

13 Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,

14 “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.

15 Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.

16 Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.

17 Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi.

18 Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.

19 “Nze kennyini nalowooza

20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,

21 Okukaaba kw’Abaana ba Isirayiri

22 “Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,

23 Ddala okusuubira obuyambi okuva mu nsozi gye twasinzizanga bakatonda abalala

24 Naye okuva mu buto bwaffe

25 Leka tugalamire, ng’ensonyi zitutta, n’obuswavu bwaffe butuyitiridde

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado