1 “Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
2 Ng’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
3 bwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
4 Bwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
5 Omubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
6 “Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
7 Ojjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
8 Eriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
9 Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
10 Taliddayo mu nnyumba ye,
11 Noolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
12 Ndi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
13 Bwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
14 n’olyoka ontiisa n’ebirooto
15 Emmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
16 Sikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
17 Omuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
18 Bw’otyo n’omwekebejja buli makya,
19 Olituusa ddi nga tonvuddeeko
20 Nyonoonye;
21 Era lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,