1 Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2 “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
3 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4 “Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
5 Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
6 Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7 “Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
8 “Onojjulula ensala yange ey’emisango;
9 Olina omukono ng’ogwa Katonda,
10 Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
11 Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
12 Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
13 Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
14 Nange kennyini ndyoke nzikirize,
15 “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
16 nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
17 Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
18 Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
19 Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
20 Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
21 Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
22 Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
23 Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
24 Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,