1 “Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
2 Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
3 Zikutama ne zizaala abaana baazo,
4 Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
5 “Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
6 gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
7 Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
8 Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
9 “Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
10 Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
11 Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
12 Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
13 “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
14 Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
15 ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
16 Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
17 Kubanga Katonda teyagiwa magezi
18 Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
19 “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
20 Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
21 Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
22 Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
23 Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
24 Mu busungu obungi emira ettaka,
25 Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
26 “Amagezi go ge gabuusa kamunye,
27 Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
28 Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
29 Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
30 Obwana bwayo bunywa omusaayi,