1 Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2 “Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
3 Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
4 “Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
5 Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
6 Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7 Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
8 ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
10 bwe n’abiteekerawo we bikoma
11 bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
13 eryoke ekwate ensi w’ekoma
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
15 Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
16 “Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
17 Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
18 Wali otegedde obugazi bw’ensi?
19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
20 Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
21 Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
22 “Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
23 Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
25 Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
26 Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
27 n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
28 Enkuba erina kitaawe waayo?
29 Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
30 amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
31 “Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
33 Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
34 “Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
35 Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
36 Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
39 “Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
40 bwe zeezinga mu mpuku zaazo,
41 Ani awa namuŋŋoona emmere,