1 “Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
2 Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
3 Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
4 Omwoyo wa Katonda ye yankola,
5 Onnyanukule nno bw’oba osobola,
6 Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
7 Tobaako ky’otya,
8 Ddala ddala oyogedde mpulira,
9 Ndi mulongoofu sirina kibi,
10 Kyokka Katonda anteekako omusango,
11 Asiba ebigere byange mu nvuba,
12 “Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
13 Lwaki omwemulugunyiza nti,
14 Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
15 Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro
16 aggula amatu g’abantu,
17 alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
18 aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
19 “Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
20 obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
21 Omubiri gwe gugwako ku magumba,
22 emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
23 Singa wabaawo malayika ku ludda lwe,
24 yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
25 omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
26 Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
27 Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
28 Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
29 “Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
30 okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
31 “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
32 Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
33 Bwe kitaba kityo, mpuliriza;