1 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
2 Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
3 Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
4 Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
5 Ensi evaamu emmere,
6 Safira eva mu mayinja gaayo,
7 Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
8 Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
9 Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
10 Asima ensalosalo ku njazi;
11 Anoonya wansi mu migga,
12 “Naye amagezi gasangibwa wa?
13 Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
15 Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
17 Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
18 Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
19 Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
20 “Kale amagezi gava ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
22 Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
23 Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
24 kubanga alaba enkomerero y’ensi
25 Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
26 bwe yateekera enkuba etteeka
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
28 N’agamba omuntu nti,