1 Awo Yobu n’addamu nti,
2 “Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
3 Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
4 Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
5 “Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
6 Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
7 Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
8 Asiba amazzi mu bire bye;
9 Abikka obwenyi bw’omwezi,
10 Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
11 Empagi z’eggulu zikankana,
12 Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
13 Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
14 Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.