1 “Lwaki Ayinzabyonna tagera biseera?
2 Abantu bajjulula amayinja agalamba ensalo,
3 Batwala endogoyi ya mulekwa
4 Basindiikiriza omunaku ne bamuggya mu kkubo,
5 Endogoyi ez’omu ddungu nga bwe zeeyisa,
6 Essubi eririibwa ensolo zaabwe baliggya ku ttale lye,
7 Olw’okubulwa engoye, basula bwereere;
8 Enkuba y’oku nsozi ebatobya,
9 Omwana atalina kitaawe bamusika ku mabeere;
10 Olw’okubulwa engoye bayita bwereere;
11 Basogolera emizabbibu ku mayinja,
12 Okusinda kw’abantu kuwulirwa mu kibuga,
13 “Waliwo abo abajeemera omusana,
14 Omutemu agolokoka nga obudde buzibye
15 Eriiso ly’omwenzi lirinda buzibe,
16 Mu kizikiza mwe basimira amayumba,
17 Eri abo bonna ekizikiza ekikutte bwe budde bwabwe obw’oku makya.
18 Bali ng’ebyovu ebiri kungulu ku mazzi,
19 Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira,
20 Olubuto lunaamwerabiranga;
21 Bayiikiriza ne banyaga omugumba atazaala.
22 Naye Katonda awalula ab’amaanyi olw’obuyinza bwe.
23 Ayinza okubaleka ne babeera mu mirembe
24 Bayimusibwa akaseera katono, oluvannyuma nga tebakyaliwo.
25 “Bwe kiba nga si bwe kiri, ani anannumiriza obulimba,