Jó 19

LUG

1 Awo Yobu n’addamu nti:

2 “Mulikomya ddi okunnyigiriza

3 Emirundi kkumi nga munvuma;

4 Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,

5 Bwe muba munneegulumiririzaako

6 mumanye nga Katonda ankoze bubi

7 “Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;

8 Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;

9 Anziggyeeko ekitiibwa kyange

10 Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,

11 Obusungu bwe bumbubuukirako;

12 Amaggye ge galumba n’amaanyi;

13 “Anziggyeeko baganda bange;

14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,

15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,

16 Mpita omuddu wange naye tawulira,

17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;

18 N’obulenzi obuto bunsekerera;

19 Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;

20 Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:

21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,

22 Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?

23 “Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,

24 Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,

25 Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu,

26 Era ng’olususu lwange bwe luweddewo,

27 nze mwene ndimulaba,

28 “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,

29 nammwe bennyini musaana mutye ekitala.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado