1 Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
2 Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
3 Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
4 Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
5 Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
6 Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
7 Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8 “Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
9 Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,