1 “Zibasanze abaana abajeemu,
2 “Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
3 Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
4 Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
5 buli muntu aliswazibwa
6 Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:
7 Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
8 Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
9 Weewaawo bano bantu bajeemu,
10 Bagamba abalabi nti,
11 Muve mu kkubo lino,
12 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
13 ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
14 Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
15 Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
16 Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
17 Abantu olukumi balidduka
18 Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
19 Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.
20 Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona, abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
21 Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
22 Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23 Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi.
24 Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo.
25 Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.
26 Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27 Laba, erinnya lya Mukama liva wala
28 Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
29 Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
31 Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
32 Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
33 Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;