1 Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
2 okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
3 Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
4 Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
5 “Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
6 Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
7 Naye kino si kye kigendererwa kye,
8 ‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
9 ‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
10 Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
12 Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
13 Kubanga yayogera nti,
14 Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
15 Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
16 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
17 Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
18 Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
19 N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
20 Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
21 Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
22 Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
23 Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
24 Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,
25 Kubanga mu kaseera katono nnyo
26 Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
27 Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
28 Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
29 Bayise awavvuunukirwa, e Geba
30 Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
31 Madumena adduse,
32 Olwa leero bajja kusibira Nobu,
33 Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;