1 Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
2 Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
3 Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
4 naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
5 Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
6 Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
7 Ente n’eddubu biririira wamu,
8 N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
9 Tewalibeera kukolaganako bulabe
10 Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
11 Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.
12 Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
13 Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
14 Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
15 Era Mukama Katonda alikaliza
16 Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga