Salmos 74

LUG

1 Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?

2 Ojjukire abantu bo be wagula edda;

3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!

4 Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;

5 Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi

6 Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,

7 Bookezza awatukuvu wo;

8 Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”

9 Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.

10 Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?

11 Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?

12 Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;

13 Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;

14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;

15 Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;

16 Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;

17 Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;

18 Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,

19 Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;

20 Ojjukire endagaano yo;

21 Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;

22 Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.

23 Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado