1 Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
3 Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
4 Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
5 Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
6 Ennyanja yagifuula olukalu.
7 Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
8 Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
9 Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
10 Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
11 Watuteeka mu kkomera,
12 Waleka abantu ne batulinnyirira;
13 Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
15 Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
16 Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
18 Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
19 ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 Katonda atenderezebwenga,