1 Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni;
2 Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo,
3 Ebibi byaffe bwe byatusukkirira,
4 Alina omukisa oyo gw’olonda
5 Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola,
6 ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo,
7 ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja,
8 Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo;
9 Ensi ogirabirira n’ogifukirira
10 Otonnyesa enkuba mu nnimiro,
11 Ofundikira omwaka n’amakungula amangi,
12 Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi,
13 Amalundiro gajjula ebisibo,