1 Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
2 Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
3 Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
4 Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
5 Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
6 Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
7 Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
8 Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
9 Naye kaakano otusudde ne tuswala;
10 Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
11 Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
12 Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
13 Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
14 Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
15 Nswazibwa obudde okuziba,
16 olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
17 Ebyo byonna bitutuseeko,
18 Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
19 Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
20 Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
21 ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
22 Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
23 Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
24 Lwaki otwekwese?
25 Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
26 Golokoka otuyambe;