1 Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
2 Mutendereze Mukama n’ennanga,
3 Mumuyimbire oluyimba oluggya;
4 Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
5 Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
6 Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
8 Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
9 kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
10 Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
11 Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
12 Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
13 Mukama asinziira mu ggulu
14 asinziira mu kifo kye mw’abeera
15 Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
16 Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
17 Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
18 Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
19 abawonya okufa,
20 Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
21 Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,