1 Mutendereze Mukama!
2 Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
4 Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
5 Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
6 Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
7 Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
8 mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
9 mmwe agasozi n’obusozi,
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
13 Bitendereze erinnya lya Mukama,
14 Abantu be abawadde amaanyi,