1 Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
2 Nnaakutenderezanga buli lunaku;
3 Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
4 Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
5 Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
6 Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
7 Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
8 Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
9 Mukama mulungi eri buli muntu,
10 Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
12 Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
13 Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
14 Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
15 Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
16 Oyanjuluza engalo zo,
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
18 Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
19 Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
20 Mukama akuuma bonna abamwagala,
21 Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,