1 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
5 Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
8 Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize;
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
11 Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;