1 Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange,
2 olyoke oyige okusalawo okw’amagezi,
3 Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
4 naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
5 Ebigere bye bituuka mu kufa,
6 Tafaayo ku kkubo lya bulamu,
7 Kaakano, batabani bange mumpulirize,
8 Mwewalenga omukazi oyo
9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,
12 Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa,
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo,
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo,
17 Leka bibeere bibyo wekka,
18 Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,
19 Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,
21 Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna,
22 Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego,
23 Alifa, kubanga yagaana okwekuuma,