1 Omuntu akakanyaza omutima gwe oluvannyuma lw’okunenyezebwa emirundi emingi,
2 Abatuukirivu bwe bakulaakulana, abantu basanyuka,
3 Ayagala amagezi asanyusa kitaawe,
4 Kabaka afuga n’obwenkanya, abantu be baba mu butebenkevu,
5 Omuntu awaanawaana munne,
6 Ebibi by’omwonoonyi bye bimutega,
7 Omutuukirivu afaayo ku nsonga z’abaavu,
8 Abakudaazi basasamaza ekibuga,
9 Omuntu ow’amagezi bw’awoza n’omusirusiru,
10 Abeegomba okuyiwa omusaayi bakyawa omuntu ow’amazima,
11 Omusirusiru alaga obusungu bwe bwonna,
12 Omufuzi bw’awuliriza eby’obulimba,
13 Omwavu n’oyo amubonyaabonya balina ekibagatta:
14 Kabaka bw’asalira abaavu emisango n’obwesigwa,
15 Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,
16 Abakozi b’ebibi bwe beeyongera obungi, okumenya amateeka kweyongera,
17 Kangavvula omwana wo, alikuwa emirembe,
18 Awatali kwolesebwa abantu tebaba beegendereza,
19 Omuweereza tayinza kubuulirirwa na bigambo byokka;
20 Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye?
21 Atiitiibya omuweereza we ekiyitiridde ng’akyali mwana muto,
22 Omuntu ow’obusungu aleeta ennyombo,
23 Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
24 Buli assa ekimu n’omubbi akyawa obulamu bwe ye,
25 Okutya omuntu kuleeta ekyambika,
26 Bangi abanoonya okuganja mu maaso g’omufuzi,
27 Atali mutuukirivu wa muzizo eri abatuukirivu;