Números 1

LUG vs NTLH

Sair da comparação
NTLH Nova Tradução na Linguagem de Hoje 2000
1 Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri. N’amugamba nti:
1 No segundo ano depois da saída dos israelitas do Egito, no dia primeiro do segundo mês, o Senhor Deus falou com Moisés no deserto do Sinai, na Tenda Sagrada . Ele disse:
2 “Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala.
2 — Você e Arão devem fazer a contagem do povo de Israel por grupos de famílias e por famílias.
3 Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe.
3 Façam a lista de todos os homens de vinte anos para cima, isto é, todos os que já têm idade para o serviço militar.
4 Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.
4 Vocês chamarão um chefe de grupo de famílias de cada tribo para ajudá-los. São estes os nomes dos homens que vão ajudar vocês: Esses foram os chefes de tribo escolhidos no meio do povo de Israel para representar os seus grupos de famílias.
5 “Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:
5 — ausente —
6 mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;
6 — ausente —
7 mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;
7 — ausente —
8 mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;
8 — ausente —
9 mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.
9 — ausente —
10 Okuva mu baana ba Yusufu:
10 — ausente —
11 Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;
11 — ausente —
12 mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;
12 — ausente —
13 mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;
13 — ausente —
14 mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;
14 — ausente —
15 mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”
15 — ausente —
16 Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.
16 — ausente —
17 Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe,
17 — ausente —
18 ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala,
18 — ausente —
19 nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:
19 Assim, a contagem no deserto do Sinai foi feita como o Senhor havia ordenado a Moisés. Os homens de vinte anos para cima, que tinham idade para o serviço militar, foram registrados pelo seu nome, cada um no seu grupo de famílias e na sua família. Começaram pela tribo de Rúben, o filho mais velho de Jacó. A soma total das tribos foi a seguinte: Da tribo de Rúben, quarenta e seis mil e quinhentos homens.
20 Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:
20 — ausente —
21 Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
21 — ausente —
22 Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:
22 — ausente —
23 Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).
23 — ausente —
24 Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:
24 — ausente —
25 Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).
25 — ausente —
26 Ab’omu bazzukulu ba Yuda:
26 — ausente —
27 Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
27 — ausente —
28 Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:
28 — ausente —
29 Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).
29 — ausente —
30 Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:
30 — ausente —
31 Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).
31 — ausente —
32 Okuva mu batabani ba Yusufu:
32 — ausente —
33 Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).
33 — ausente —
34 Ab’omu bazzukulu ba Manase:
34 — ausente —
35 Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).
35 — ausente —
36 Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:
36 — ausente —
37 Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).
37 — ausente —
38 Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:
38 — ausente —
39 Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
39 — ausente —
40 Ab’omu bazzukulu ba Aseri:
40 — ausente —
41 Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).
41 — ausente —
42 Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:
42 — ausente —
43 Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).
43 — ausente —
44 Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye.
44 — ausente —
45 Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe.
45 — ausente —
46 Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).
46 — ausente —
47 Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa.
47 Mas os levitas não foram registrados com as outras tribos ,
48 Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti,
48 pois o Senhor tinha dito a Moisés o seguinte:
49 “Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.”
49 — Quando você fizer a contagem dos homens com idade para o serviço militar, deixe de fora os homens da tribo de Levi.
50 Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Endagaano n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola.
50 Mas ponha os levitas para cuidarem da Tenda Sagrada e de todos os seus móveis e objetos. Eles carregarão a Tenda e todo o seu equipamento, farão ali o serviço religioso e acamparão ao redor dela.
51 Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga.
51 Quando a Tenda tiver de ser transportada, os levitas a desarmarão e, quando for preciso acampar de novo, eles a armarão outra vez. Quem não for levita e chegar perto da Tenda deverá ser morto.
52 Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe.
52 Os outros israelitas ficarão cada um no seu próprio acampamento, perto da sua própria bandeira, de acordo com o seu grupo.
53 Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Endagaano, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Endagaano.”
53 Mas os levitas acamparão ao redor da Tenda para guardá-la a fim de que ninguém chegue perto, e assim eu não fique irado com o povo de Israel.
54 Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
54 E o povo fez tudo como o Senhor havia ordenado a Moisés.

Ler em outra tradução

Comparar com outra