1 Nze muntu eyakangavvulwa
2 Angobye mu maaso ge n’antambuliza
3 ddala, omukono gwe gunnwanyisizza
4 Akaddiyizza omubiri gwange n’eddiba lyange
5 Antaayizza n’anzijuza
6 Antadde mu kizikiza
7 Ankomedde n’okuyinza ne siyinza kudduka,
8 Ne bwe mukoowoola ne mukaabira nga mmusaba anyambe,
9 Anteeredde amayinja mu kkubo lyange
10 Ng’eddubu bwe liteega,
11 yansikambula n’anziggya mu kkubo lyange n’antaagulataagula
12 Yanaanuula omutego gwe,
13 Yafumita omutima gwange
14 Nafuuka ekisekererwa eri abantu bonna,
15 Anzijuzza ebikaawa
16 Ampadde oluyinjayinja okululya amannyo gange ne gamenyeka;
17 Emmeeme yange terina mirembe,
18 Era njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
19 Nzijukira okubonaabona kwange n’okuwankawanka kwange,
20 Mbijjukira bulungi
21 Ebyo byonna mbijjukira,
22 Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
23 Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
24 Njogera mu mutima gwange nti, “Mukama gwe mugabo gwange,
25 Mukama mulungi eri abo abamulinamu essuubi,
26 Kirungi omuntu okulindirira
27 Kirungi omuntu okwetikka ekikoligo kye
28 Atuulenga yekka mu kasirise
29 Leka akweke amaaso ge mu nfuufu, mpozi wanaabaawo essuubi.
30 Leka aweeyo oluba lwe okukubibwa,
31 Kubanga Mukama taligobera bantu bweru
32 Newaakubadde ng’aleeta obulumi, aliraga ekisa
33 Tagenderera kuleeta bulumi
34 Mukama akkiriziganya
35 n’okuggyako omuntu obwetwaze bwe
36 oba n’obutaba na bwenkanya eri omuntu?
37 Ani ayinza okwogera ekintu ne kituukirira,
38 Mu kamwa k’oyo Ali Waggulu Ennyo,
39 Lwaki omuntu omulamu yeemulugunya,
40 Twekebere engeri zaffe, era tuzeetegereze,
41 Tuyimuse emitima gyaffe n’emikono gyaffe
42 “Twayonoona ne tujeema,
43 “Ojjudde obusungu n’otugobaganya,
44 Weebisseeko ekire,
45 Otufudde obusa n’ebisasiro
46 “Abalabe baffe bonna batwogerako
47 Tubonyeebonye olw’entiisa n’emitego
48 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
49 Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
50 okutuusa Mukama lw’alisinzira
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
52 Abalabe bange banjigganya olutata
53 Bagezaako okuzikiririza obulamu bwange mu bunnya,
54 amazzi gaabikka omutwe gwange,
55 “Nakoowoola erinnya lyo, Ayi Mukama,
56 wawulira okwegayirira kwange: toziba matu go
57 Bwe nakukoowoola wansemberera
58 Mukama watunula mu nsonga yange,
59 Ayi Mukama, walaba ebibi bye bankola,
60 Walaba bwe bampalana,
61 Wawulira bye banvuma, Ayi Mukama Katonda,
62 obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange
63 Batunuulire mu kutuula kwabwe ne mu kuyimirira kwabwe;
64 Obasasule nga bwe kibagwanira Ayi Mukama Katonda,
65 Osseeko ekibikka ku mitima gyabwe,
66 Obayigganye mu busungu bwo obazikirize