1 Woowe, singa omutwe gwange gubadde mugga
2 Woowe singa mbadde n’ekisulo
3 “Bategeka olulimi lwabwe
4 “Mwegendereze mikwano gyammwe
5 Buli muntu alimba muliraanwa we
6 Mubeera wakati mu bulimba;
7 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
8 Olulimi lwabwe kasaale akatta,
9 Nneme okubabonereza olw’ebintu bino?”
10 Ndikaaba ne nkungubagira ensozi
11 “Ndifuula Yerusaalemi entuumu y’ebifunfugu,
12 Mugezigezi ki anaayinza okutegeera kino? Ani oyo Mukama gw’abuulidde alyoke akinnyonnyole? Lwaki ensi eyonoonese ng’eddungu ne wataba agiyitamu?
13 Mukama n’agamba nti, “Kubanga balese amateeka gange, ge nabateekerawo. Tebaŋŋondedde wadde okugoberera amateeka gange.
14 Naye, bagoberedde obukakanyavu bw’emitima gyabwe ne basinza ebifaananyi bya Babaali nga bajjajjaabwe bwe baabayigiriza.”
15 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Laba ndiriisa abantu bano emmere ekaawa ne mbanyweesa n’amazzi ag’obutwa.
16 Ndibasaasaanya mu mawanga bakitaabwe ge bataamanya; era ndibasindiikiriza n’ekitala, okutuusa nga mbazikirizza.”
17 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
18 Leka bajje mangu
19 Kubanga amaloboozi ag’okukungubaga gawuliddwa mu Sayuuni;
20 Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
21 Kubanga okufa kutuyingiridde mu madirisa,
22 “Yogera,” bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
23 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
24 Naye leka oyo eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu kino:
25 “Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza abo bonna abakomole obukomozi mu mubiri:
26 Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”