1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
2 Ndituma abagwira e Babulooni
3 Omulasi talikuba busaale bwe,
4 Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
5 Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
6 “Mudduke Babulooni.
7 Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
8 Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
9 “ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
10 “ ‘Mukama atulwaniridde,
11 “Muwagale obusaale,
12 Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
13 Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
14 Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
15 “Ensi yagikola n’amaanyi ge;
16 Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
17 “Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
18 Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
19 Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
20 “Muli mbazzi yange,
21 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
22 era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
23 Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
24 “Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
25 “Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
26 Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
27 “Yimusa bendera mu ggwanga!
28 Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
29 Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
30 Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
31 Matalisi omu agoberera omulala,
32 entindo z’emigga baziwambye,
33 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
34 “Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
35 Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
36 Mukama kyava ayogera nti,
37 Babulooni kirifuuka bifunvu,
38 Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
39 Naye nga bakyabuguumirira,
40 “Ndibaserengesa
41 “Sesaki nga kiriwambibwa,
42 Ennyanja eribuutikira Babulooni;
43 Ebibuga bye birisigala matongo,
44 Ndibonereza Beri mu Babulooni,
45 “Mukiveemu, abantu bange!
46 Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
47 Kubanga ekiseera kijja
48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
49 “Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
50 Mmwe abawonye ekitala,
51 “Tuweddemu amaanyi
52 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
53 Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
54 “Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
55 Mukama alizikiriza Babulooni,
56 Omuzikiriza alirumba Babulooni;
57 Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
58 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
59 Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
60 Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
61 Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna.
62 Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
63 Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati.
64 Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”