Jeremias 13

LUG

1 Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”

2 Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.

3 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri

4 nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.”

5 Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.

6 Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”

7 Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.

8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,

9 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi.

10 Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.

11 Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”

12 “Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’

13 Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi.

14 Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”

15 Wuliriza ontegere okutu;

16 Mukama Katonda wo

17 Naye bwe mutaafeeyo,

18 Gamba kabaka era ne namasole nti,

19 Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,

20 Muyimuse amaaso gammwe

21 Muligamba mutya Mukama

22 Era bwe weebuuza nti,

23 Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe

24 “Ndibasaasaanya ng’ebisusunku

25 Guno gwe mugabo gwo

26 Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,

27 Ndabye obwenzi bwammwe

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado