1 Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda,
2 Wabasimba, emirandira ne ginywera,
3 Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda,
4 Ensi erikoma ddi okwonooneka,
5 “Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro
6 Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
7 “Njabulidde ennyumba yange,
8 Abantu bange be nalonda
9 Abantu bange be nalonda
10 Abasumba bangi
11 Eyonooneddwa efuuse ddungu
12 Abanyazi bazze
13 Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa.
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo.
15 Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye.
16 Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17 Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.