1 Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,
2 “Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
3 Laba, wayigiriza bangi,
4 Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa,
5 Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
6 Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
7 “Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
8 Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
9 Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
10 Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
11 Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
12 “Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
13 Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
14 okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
16 Ne buyimirira butengerera,
17 ‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
18 Obanga abaddu be tabeesiga,
19 kale kiriba kitya,
20 Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
21 Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,