1 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
2 “Muwulirize n’obwegendereza ebigambo byange,
3 Mungumiikirizeeko nga njogera,
4 “Okwemulugunya kwange nkw’olekezza muntu?
5 Muntunuulire mwewuunye,
6 Bwe ndowooza ku kino, nfuna entiisa;
7 Lwaki abakozi b’ebibi bawangaala,
8 Balaba abaana baabwe bwe banywezebbwa,
9 Amaka gaabwe gaba n’emirembe nga temuli kutya;
10 Ennume zaabwe teziremererwa,
11 Abaana baabwe bagendera wamu nga kisibo;
12 Bayimbira ku bitaasa n’ennanga,
13 Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi,
14 Kyokka bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe gyaffe!
15 Ayinzabyonna ye ani tulyoke tumuweereze?
16 Naye obugagga bwabwe tebuli mu mikono gyabwe,
17 “Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
18 Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
19 Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
20 Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
21 Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
22 “Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
24 omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
26 Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
28 Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
30 nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
32 Atwalibwa ku ntaana,
33 Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
34 “Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?