1 “Omuwala wa Babulooni embeerera,
2 Ddira olubengo ose obutta.
3 Obwereere bwo bulibikkulwa;
4 Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye,
5 “Tuula mu kasirise
6 Nnali nsunguwalidde abantu bange,
7 Wayogera nti,
8 “Kale nno kaakano wuliriza kino,
9 Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
10 Weesiga obutali butuukirivu bwo,
11 Kyokka ensasagge erikujjira
12 “Weeyongere nno n’obulogo bwo
13 Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya.
14 Laba, bali ng’ebisusunku
15 Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka;