1 Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
2 Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,
3 Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
4 “Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
5 Weewaawo, omwenge mulimba
6 “Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti,
7 Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde,
8 Kubanga onyaze amawanga mangi,
9 Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
10 Wategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
11 Amayinja g’oku bbugwe galikaaba,
12 Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
13 Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
14 Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
16 Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
17 Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
18 “Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
19 Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
20 Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: