Ezequiel 27

LUG

1 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,

2 “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo.

3 Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

4 Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,

5 Baakola embaawo zo zonna

6 Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,

7 Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,

8 Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,

9 Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,

10 “ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti,

11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe

12 “ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13 “ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14 “ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15 “ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16 “ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17 “ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18 “ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari.

19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21 “ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22 “ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23 “ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe.

24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi

26 Abakubi b’enkasi bakutwala

27 Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,

28 Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,

29 Abakubi b’enkasi bonna

30 Baliyimusa amaloboozi gaabwe

31 Balikumwera emitwe gyabwe,

32 Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe

33 Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,

34 Kaakano ennyanja ekumazeewo,

35 Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja

36 Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado