Eclesiastes 5

LUG

1 Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.

2 Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,

3 Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,

4 Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.

5 Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.

6 Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?

7 Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.

8 Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.

9 Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.

10 Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;

11 Ebintu nga bwe byeyongera obungi,

12 Otulo tuwoomera omupakasi

13 Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:

14 ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,

15 Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,

16 Na kino kya bulumi bwereere:

17 Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,

18 Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.

19 Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.

20 Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado