1 Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
2 Mugende mulabe e Kalune;
3 Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
4 Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
5 Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
6 Mwekatankira wayini,
7 Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
8 Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
9 Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa.
10 Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 Laba Mukama alagidde,
12 Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
13 Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
14 Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,